Isaiah 22

Obunnabbi Obufa ku Yerusaalemi

1 aObunnabbi obukwata ku Kiwonvu ky’Okwolesebwa:

Kiki ekikutawanya kaakano,
n’okulinnya n’olinnya waggulu ku busolya,
2 bggwe ekibuga ekijjudde oluyoogaano,
ggwe ekibuga eky’amasanyu era eky’ebinyumu?
Abantu bo abattibwa,
tebaafa kitala newaakubadde okufiira mu lutalo.
3Abakulembeze bo bonna baddukidde wamu;
bawambiddwa awatali kulwana.
Bonna baakwatibwa ne batwalibwa wamu nga basibe,
kubanga badduka.
4 cKyenava njogera nti, “Munveeko,
mundeke nkaabire ddala nnyo.
Temugezaako kunsaasira
olw’okuzikirizibwa kw’omuwala w’abantu bange.”

5 dMukama, Mukama Katonda ow’Eggye alina olunaku
olw’akatabanguko,
olw’okulinyirirwa n’entiisa mu Kiwonvu ky’Okwolesebwa;
olunaku olw’okumenya bbugwe,
n’okukaabirira ensozi.
6 eEramu ayambalidde omufuko gw’obusaale,
n’atwala n’abavuzi b’amagaali ge n’embalaasi,
Kiri
Kiri Kifo ekisangibwa mu Bwasuli
asabuukulula engabo.
7 gEbiwonvu byo ebisinga obulungi bijjudde amagaali,
n’abeebagala embalaasi bassibbwa ku wankaaki.

8 hOkwerinda kwa Yuda kuggyiddwawo.
Ku lunaku olwo watunuulira
ebyokulwanyisa eby’omu Lubiri olw’Ekibira.
9 iWalaba amabanga agaali mu kwerinda
kw’Ekibuga kya Dawudi,
wakuŋŋaanya amazzi
mu Kidiba eky’Emmanga.
10Wabala ebizimbe mu Yerusaalemi
n’omenya amayumba okusobola okunyweza bbugwe.
11 jWasima ekidiba omuterekebwa amazzi wakati w’ebisenge ebibiri,
n’okuŋŋaanya ag’ekidiba ekikadde,
naye tewatunuulira Oyo eyakisima,
wadde okussaamu ekitiibwa Oyo eyakiteekateeka mu biro eby’edda.

12 kKu lunaku olwo Mukama Katonda ow’Eggye
yalangirira okukaaba n’okukuba ebiwoobe,
n’okwemwako enviiri
n’okwambala ebibukutu.
13 lNaye laba, ssanyu na kujaguza,
okubaaga ente n’okutta endiga,
okulya ennyama n’okunywa envinnyo.
Mwogere nti, “Leka tulye, era tunywe
kubanga enkya tunaafa.”
14 m Mukama ow’Eggye akimbikulidde n’aŋŋamba nti, “Ekibi kino tekirisonyiyibwa wadde okuggyibwawo okutuusa lw’olifa,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.

15 nBw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Genda eri omuwanika oyo,
eri Sabuna avunaanyizibwa olubiri omugambe nti,
16 oOkola ki wano era ani yakuwadde olukusa
okwetemera entaana wano,
n’otema n’amaanyi entaana yo waggulu mu lwazi,
ne weerongoosereza eyo ekifo eky’okuwummuliramu?

17“Weegendereze Mukama Katonda anaatera okukuvumbagira,
akuggyewo ggwe omusajja ow’amaanyi.
18 pAlikuzingazingako,
n’akukanyuga mu nsi engazi, nga bwe yandikanyuze omupiira ogusambwa.
Eyo gy’olifiira,
era eyo amagaali go ag’ekitiibwa gye galisigala,
ggwe ensonyi ez’ennyumba ya Mukama wo.
19Ndikuggya ku ntebe yo,
era oliggyibwa mu kifo kyo.
20 q“Mu biro ebyo nditumya omuweereza wange Eriyakimu mutabani wa Kirukiya. 21Ndimwambaza ekyambalo kyo, ne munyweza n’olukoba lwo, ne mukwasa obuyinza bwo. Aliba kitaawe w’abo ababeera mu Yerusaalemi, n’eri ennyumba ya Yuda. 22 rNdimukwasa ekisumuluzo ky’ennyumba ya Dawudi; bw’aliggulawo tewaliba aggalawo, bw’aliggalawo tewaliba aggulawo. 23 sNdimunyweza mu kifo ng’enkondo ennene, era aliba ntebe ya kitiibwa eri ennyumba ya kitaawe. 24Ekitiibwa ky’ennyumba ye kiribeera ku nnyumba ye, ne ku zadde lye ne ku nda ye yonna, ne ku bintu bye ebinywerwamu, okuva ku bibya okutuuka ku nsumbi.”

25 tBw’ati bw’ayogera Katonda ow’Eggye nti, “Ku lunaku olwo, enkondo ennene eyakomererwa mu kifo n’enywera erisalibwa, n’eneguka, n’egwa, n’omugugu gw’ekutte gulisarwako.” Mukama ayogedde.

Copyright information for LugEEEE